Proverbs 6:20-29

Okulabula Ku Bwenzi

20 aMwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 bBisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 cKubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
24 dokukuwonya omukazi ow’ebibi,
okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 ekubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
ebigere bye ne bitasiriira?
29 fBwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
Copyright information for LugEEEE